<?xml version="1.0" encoding="utf-8"?> <document> <s id="1">Emirandila, enduli, ebikoola, ebimuli, ebibala n'ensigo by'ebitundu ebisookelwako ebikola ekimera. (i) Enduli oba enkolo (Stems) Enduli ziyamba okutambuza amazzi n'ebiriisa ebiba biyingiziddwa emirandira okudda mu bikoola, olwo emmere ekoleddwa mu bikoola n'egenda mu bitundu by'ekimera ebirala.</s> <s id="2">Okusiiyibwa amaaso Conjunctivitis y'endwadde ekwata amaaso omuntu n'afuna okusiiyibwa n'obuzimbu ku kitundu ky'eriiso ekyeru ate ne munda w'obususu obubikka ku liiso.</s> <s id="3">Abamu kye bava ekikolwa bakiyita Nnantabira.</s> <s id="4">Abantu kye bayita foyilo wa ttino kyakolebwanga mu ttino naye kati foyiro akolebwa mu aluminaamu (aluminum).</s> <s id="5">Kyamazima amasomero awamu ag'ebisulo oluvannyuma gaafunira abayizi emyeso naye abayizi abaayesanga tebaabanga bangi nnyo olw'okubanga omweso gwali gumaze okuvumaganibwa nti `guleeta envunza.'</s> <s id="6">Omuwendo gw'omuganyulwo gw'osasulwa gusinziira ku bintu bisatu: a) Omuwendo gwa sente ze wewola =Omutemwa (the principle).</s> <s id="7">Weetegereze : "Empalirizo z'Entondeka y'ebikole"(Forces of Production).</s> <s id="8">(Soma munno wa January 1915 empula 6-8 nga kizito Tobi awandiika ku "Ensi Muwawa Buganda".</s> <s id="9">Okutwalira awamu, abakyala basikirizibwa obulabe bw'omwenge, nebizibu by'enddwade z'omutwe okusinga abasajja.</s> <s id="10">Wikipedia mutimbagano gwa magezi ku bintu byonna mu nsi.</s> <s id="11">Desaati kiba kya kulya oba eky'okunywa ekigabibwa nga okulya kuwedde.</s> <s id="12">Ekyokulabirako kyesatuza erina feesi 6.</s> <s id="13">Mu Buganda, Empeewo kye kimu ku Bika .Akulira ekika ky'empeewo ayitibwa KIGGYE era ng'atuula BUBIRO mu KYAGGWE.</s> <s id="14">Omuzaddeomugunjufu alina okulaga omwana nti omukulembeze aba muweereza wa bantu era yetaaga ebiseera ebimu okuba nga yenyigira mu mirimu egya bonna, si kutuula wali nga abalala bakola.Waliwo abazadde , naddala abazadde abasajja abeeteekamu olukungu ne babeerawo kuddumira buduumizi baana okukola naddala okulima naye nga bbo tebenyigiddemu yadde omulundi ogumu.</s> <s id="15">Olw'okubaawo akasannyalazo kano akamu akabulako, obuziba(atomu) bwa kololiini, bwanguwa okwegatta n'obuziba obw'ekika ekirala kyonna obuba n'akasannyalazo kamu akayiseemu.</s> <s id="16">Okuva edda ng'abantu babeera n'oluzzi oba enzizi ku kyalo kwe babeera.</s> <s id="17">Eby'okulabirako: Olimulaba ng'azze.</s> <s id="18">Ate era olina okumanya nti nampewo w'Ensi (the atmosphere of the Earth) akolebwa zi ggaasi ez'enjawulo naddala nayitilogeni ne wokisigeni.</s> <s id="19">Okutolontoka (Momentum) Okutolontoka kuba kupima engeri ekintu ekitebenta oba ekidduka gye kiyinza okuba ekizibu okukiyimiriza.</s> <s id="20">Okugeza Musa ne Eriya mu kugondera ekigambo kya Katonda baawakanya amaanyi g'abafuzi ne bakabaka ba mawanga [Exodus 7:12, 8:18, ne 1Kings 18 :36 -39].</s> <s id="21">Okumanya okw'embagirawo kuno kukuyamba okukendeeza sipiidi ng'otuuse mu koona w'otolabira mu maaso gy'olaga.</s> <s id="22">Abakulu oba abazadde balina okwegendereza obutaziiyiza busobozi bwa baana kuba banyumya, abagobansonga , abayinza okukubaganya ebirowoozo mu ngeri ey'ekitegeevu.</s> <s id="23">Binyiny, ekibuga mu Kween mu Yuganda.</s> <s id="24">Entunnunsi tetera kubeera na bubonero.</s> <s id="25">Ekisinziiro gye kikoma okuba okumpi n'ekizito ekisitulibwa, gye kikoma okusitula ekizitowaggulu, ensuubo gy'ekoma okuba empanvu, gy'ekoma okuyamba okusitula ekintu waggulu.</s> <s id="26">Kino kyetaagisa okukyuusa enneeyisa okuziiyiza obungi bwa kabwokisaidi mu nampewo.</s> <s id="27">ObubonerO bwe obusooka kuliko: ekikeeto, okulumizibwa waggulu mu lubuto, okusinduukirirwa emmeeme, n'obutaagala kulya.</s> <s id="28">Obuzibu buno businziira ku bungi bw'omwenge omukyala gw'anywa ng'ali lubuto ebbanga mw'agunyweredde neddi lw'agunywedde.</s> <s id="29">Ebisigalira ebipimiddwa okuba n'emyaka obukadde buibiri bizuuliddwa nga irina obwongo obunene okusinga ebya komowedda(kominids) . manya nti omuntu okuba n'obwongo obunene kyekimusobozesa okubeera kalimagezi kubanga gye bukoma obunene gye bukoma okubaamu ebisenge ebikwanaganya obwa kalimagezi .</s> <s id="30">Bwe liddamu okukikola oyinza okulikubamu akayi ku bugalo .</s> <s id="31">Eky'okulabirako, olubaawo oba omuzira ogw'enkalubo (solid ice) byombi birina obukwafuwavu bwa wansi okusinga amazzi.</s> <s id="32">Amayengo g'ekitangaala gatambulira mu bipimo bya njawulo.</s> <s id="33">5.KAWULUGUMO: ENO EWEREKERA MUJJAGUZO NGA KABAKA ATUUZIBWA KU NNAMULONDO. • Katonda ateeka Omugugu ku bulamu bwo nga omugugu ogwo kye kigambo kye eri abantu be oba omuntu gwa ba akutumyeko okumwenenyerezaako oba okwegayirira ku lw'ekyetaago kyaba alina.</s> <s id="34">Singa wabaawo ekikunizo eky'okukubisa oba okugabiza ekisukka mu kimu, oba olina okukibalanguza okuva ku kkono okudda ku ddyo.</s> <s id="35">Obujjanjabi buzingiramu okulongoosa n'obujjanjabi obulala.</s> <s id="36">"Akaziba"(atomu) kitegeeza akasirikitu akali ewala ennyo n'obusobozi bw'eriiso eriri obukunya(naked eye) okukalaba, ekitegeeza nti kaba ketaagisa enzimbulukuza ey'obusannyalazo (electronic microscope) ey'enjawulo.Mu bungi "akaziba" kba "obuziba" (atoms).</s> <s id="37">Entababuvo ez'obutonde( natural communities) mu ntababutonde zikyuka okuyita mu enziring'ana (succession) ,ekiinza okutwaliramu obuwanvu bw'ebiseera obuli wakati w'emyaka emitono okutuuka mu mya ebikumi .</s> <s id="38">Ebintu ebina bye nsoose okubamenyera, abantu aba omulembe guno abasinga obungi babitunuulilila mu kkowe lya kusiŋŋana.</s> <s id="39">Kkalwe (iron) k'akaziba ak'ekika ekisingayo obuzito enjuba ky'eyinza okukola, ekitegeeza nti enjuba bw'eba ekoze Kkalwe okuva mu kaboni ne okisigyeni wayo asinga obungi, efuuka semufu (supanova) n'eyabika (n'etulika).</s> <s id="40">Kyetaagisa nnyo okulaba nga buli nsi eteekawo ebigobererwa n'amateeka agasobozesa okukuuma obwebungulule bw'omuntu nga tebutaataaganyiziddwa.</s> <s id="41">Balukake yali mugagga era nga mutaka mulyambidde.</s> <s id="42">Eno y'engeri esingayo obulungi okusomesa abaana.</s> <s id="43">Kyokka embeera bw'erema bakyayinza okukozesa ne ku ddagala eriyitibwa Clozaphine.</s> <s id="44">Muwanga yali omu ku bakakensa ba Buganda ab'edda.</s> <s id="45">Bwe tuba nga tunayitimuka okutuuka ku mutondo gw'enkulaakulana mu bbanga ettono tulina okutandika nga essira tuliteeka ku kukulaakulanya ennimi zaffe ez'ekinnansi nga Oluganda mu miramwa egy'oluganda nga bwe tulaga egyo gye gikwatagana nagyo mu Lungereza.Lwaki?</s> <s id="46">Gakuweebwa okuva eri Charles Muwanga !!!</s> <s id="47">By'olina okusooka okumanya ku Buziba Mu essomabuziizi obuziba butwalibwa okuba obutoffaali obuzimba buli nabuzimbe (matter).</s> <s id="48">Okutya[[1]] kimu ku bubonero bw'okukulungutana nga kireetebwa embeera egwa obugwi.</s> <s id="49">Awo Walusimbi ne Ssebwana nebakuuma Namulondo.</s> <s id="50">Ennima ey'obutonde ekwata ku kulima okutaliimu kukozesa ddagala erikolebwa okutta ebiwuka ebitawaanya ebirime oba ebigimusa ebikoleddwa obukolebwa.</s> <s id="51">Ebiseera ebisinga tewali bubonero bwa okugyiraba obubonero bw'embeera eno bwebulabika, watera okubeerawo okulumwa omutwe, obutalaba bulungi mu mataala agaaka ennyo, okusesema, obulumi mu lubuto n'okuzimba, obulwadde bwensigo n'endwadde endala nnyingi nga omusaayi okwekwata mu mubiri.</s> <s id="52">Awo nno ekya abazadde okwagala abaana baabwe okuyiga ennimi encaasi kileme kutwalibwa nga nsonga elimu ensa ela eweza ennimi enzaalilanwa.</s> <s id="53">Mu essomabiramu(biologia) , ekikula(sitegeeza "nkula") y'emu ku namunigina (units)omusengekebwa ebiramu mu nsengeka y'ebiramu ( taxonomic rank.) .</s> <s id="54">Sente z'osasulwa zisinziira ku namba ya myezi omupangisa z'akibeeramu.</s> <s id="55">Emmere engagga mu bireetamaanyi(carbohydrate-rich foods ) ate era ze zisinga okuvaamu ebizimbamubiri(proteins) mu bitundu by'ensi ebisinga.</s> <s id="56">Omuyivuwavu(intellectual) kiva mu bigambo "omuyivu ekiwanvu , ekitegeeza nti "omuyivuwavu" atera okuba ng'alina diguli eza waggulu( advanced degree) era nga "omukenkufu"(Professor) y'asembayo waggulu mu ttuluba er'abayivu ekiwanvu(abayivuwavu.</s> <s id="57">Obuziba bwonna buba bwagala okufuna ensengeka y'obusannyalazo enzigumivu (electron configurations) efaanana eya ggaasi eza nobiriya (noble gases) , ntegeeza ensengeka z'obusannyalazo ezijjuza ebire eby'ebweru.</s> <s id="58">Ekyo kye kigambo ekikujjira ne kikuteganya n'obulwa emirembe ppaka nga okoze kye kiragira. • Tokola kintu nga bwolowooza oba nga bwe kikolebwa bulijjo wabula okola ebintu nga Omwoyo Omutukuvu bwalungamya obulamu.</s> <s id="59">Kino kituyamba okwewala okwonoona ebintu ebyandibadde eby'omugaso.</s> <s id="60">Ekirwadde kitwale mangu bakebere bakuwe eddagala kuba kiwona singa oba tosookedde mu mmumbwa n'ogenda mangu mu basawo abazungu .</s> <s id="61">Akawango ‘eki..." kalaga amakulu aga "ekikube ekya..." (Drawing of) oba "ekibalo kya....".</s> <s id="62">Ebitongole bino obigerageranya n'empagi luwaga ebeera mu makkati g'ensiisira, ennyumba yaffe ey'eyedda, era gy'oyinza okuyita sebuzimbe oba sebasitula olw'okuba y'ewanirira obuzimbe bw'ensiisira oba y'esitukirako ensiisira.</s> <s id="63">Abamakisa balowooza nti mu nkola ya Ssitakange abakozi abakola obugagga tebalina kwenyumiriza mu nbibala bya ntuuyo zaabwe(sapulaasi).</s> <s id="64">Ekyokulabirako emmeeza ekolebwa kuva mu muti kyokka n'emisumaali, ebidduka, eddagal, kompyuta, amasimu, eminyolo, na buli kintu bikolebwa kuva mu matiiriyo ez'enjawulo.</s> <s id="65">Amasoboza amatereke (Energy Stored) Amasoboza tegayinza kutondekebwawo yadde okusaanyizibwawo naye gayinza okuterekebwa mu mbeera ez'enjawulo.</s> <s id="66">Okumaliriza Omuntu yenna ow'omulembe guno okubeera nga wa mulembe ddala yetaaga okuba ng'amanyi kalonda yenna akwata ku ntabaganyamawanga kimusobozese okwenyigira mu kwekulaakulanya okutuukana n'abantu abali mu entabaganyabantu ezaakula edda.</s> <s id="67">Singa atomu ya yulaniyaamu ekutukamu, yetaagisa amasoboza matonoko okukumira atomu ebbiri entono awamu era amasoboza gano geyolekera mu kwokya.</s> <s id="68">Bw'alaya enduulu, asooka okuwulira muliraanwa era nnyinza okugamba nti gw'aba ayita amuyambe.</s> <s id="69">Ne mu mboozi endala bwe kityo bwe kiri.</s> <s id="70">"Etteeka ly'okuva ery'okusatu" (the third law of Motion) Etteeka lya Netoni ery'okuva ery'okusatu ligamba nti: "Buli kikolwa kireetawo ensindikano ekyenkana okuva ku ludda olwa kikontana".</s> <s id="71">Okulowooza okw'okusegeera (concrete thinking) kitegeeza kulowooleza kumpi oba ku ngulu so nga okulowooza okw'okugereesa (abstract thinking) kuba kulowooza ku kintu okutuuka mu buziba bwakyo nga webuuza, ne wekebejja, ne wekenneenya era n'okyefumiitirizaako.</s> <s id="72">Wano gabizaamu omuwendo gwa sente ne mita 0.5.</s> <s id="73">Mu nsi ezaakula n'ezikyakula obulwadde buno bugattibwa ku ndwadde ezigemebwa nga olukusense.</s> <s id="74">VAKISINI y'akawuka HIV esobola okwogerwako nga vakisini esobola okukozesebwa n'egema oba okutangira abantu abatalina kawuka ako (HIV) okubakwata oba esobola okuleetawo embeera esobola okutaataganya embeera y'akawuka ako mu mubiri gw'omuntu (therapeutic effect).</s> <s id="75">Ekitundu ekyo kisinga kubelamu estates eze nyumba naye namayumba amapangise galiyo.</s> <s id="76">Buli muntu ateekwa okuba nekyakiririzaamu ku bibiri ebyo.</s> <s id="77">Kibuyaga ereetebwawo enjawulo mu kanyigirizi/ kunyigirizibwa (Pressure).</s> <s id="78">Kino kikolebwa okuyita mu: • Okulowooza nga yebuuza ku ky'alowozaako • Okwekebejja ekintu • Okwekenneenya • Okwefumiitiriza • Okulambika ebirowoozo (ensonga) • Okulambulula ebirowoozo (ensonga) • N'okusengeka ebirowoozo oba ensonga ezo (logic).</s> <s id="79">Ku luno, abakugu batuleetedde ekika kya kasooli ekipya kye bayita YARA 42.</s> <s id="80">Ekimu bwe kitakola baza ogezeeko ekirala.</s> <s id="81">Kakensa Isaac Newton era yagamba nti lwaki enkulungo ziri mu kyebulungulo ky'essikirizo ly'enjuba y'ensonga y'emu lwaki ekibala bwe kinogoka ku muti kigwa wansi ne kiteyunira waggulu.</s> <s id="82">Kookolo w'abasajja akeberebwa nga bakozesa enkola ey'okumuggyako akanyama ne kateekebwa mu kyuma ne kakeberebwa.</s> <s id="83">Ensasi (spark) erina okubaawo mu kasera kennyini akatuufu ekintu okutabuka obulungi. (ii) Obwebunizo (valves) Obweburizo obubuyimiriza n'okufulumya bweggala mu kaseera aketaagisa okuyingiriza empewo n'amafuta n'okufulumya omukka ogwa kazambi.</s> <s id="84">Ejjengerero liba nga ggaasi naye obuziba( atomu) bwaa njawulo kubanga bukolebwa obusannyalazo obutayaaya (free electrons) ne vatomu (ions) z'endagakintu.</s> <s id="85">NZE KITAMMWE ABAAGALILA DDALA, KIRIGGWAJJO ANATOLE JESERO LUGO.</s> <s id="86">Okwegatta mu ngeri ey'obuvunaanyizibwa okugeza okukozesa obupiira bukalimpitawa, okubeera n'abantu be weegatta nabo nga batono n'okubeera mu mbeera nga buli muntu alina omuntu omu yekka gwe yeegatta naye kisobola okukendeeza ku bulwadde buno.</s> <s id="87">Zino zirina empimo y'obuwanvu(length) n'obukiika(width) (b) Enkula ennetoloovu=Entoloovu(Circle).</s> <s id="88">AKAFUBA Akafuba bwe bulwadde obuleetebwa akawuka akakwata amawuggwe.</s> <s id="89">Abantu: 26.370 (2014) Omuko guno kitundutundu.</s> <s id="90">Era kyusizzaawo emmere okuva ku Starter okudda ku Grower's Mash.</s> <s id="91">Eby'okulabirako: Twala abawala bazannye.</s> <s id="92">Bbulangiti y'empewo eno eyebulungudde ensi y'eyitibwa "Nampewo".</s> <s id="93">Muddugavukwefaako ndowooza etategeeza nti ennimi engwiira tuziviireko ddala, wabula tukozese ennimi zaffe enzaaliranwa n'ezo engwira mu kusomesa, okuyiga n'okunoonyewreza okwa sayansi.Kino kyetaagisa kawefube okukulaakulanya ennini zaffe enzaaaliranwa okufuuka ennimni eza sayansi.</s> <s id="94">Bbulangiti y'empewo okuba enkwafu mu kitundu ekimu okusinga mu kirala kitegeeza nti ekifo ekimu (empewo w'eri emnkwafu) wabaawo empewo nnyingi okusinga awaddako.</s> <s id="95">Empalirizo eno esika ezza wansi okudda mu makkati g'ensi.</s> <s id="96">Osobola okuziyiza omusujja guno singa osula mu katimba ke nsiri.</s> <s id="97">Mu butuufu Olulimi okutandika okufuuka olwa sayansi kirwetaagisa okwawula emiramwa gino esatu .Ki kulu okutegeera nti buli ekigenda mu maaso mu bulamu ne mu butondewaliwo amaanyi ag'enjawulo agakisobozesa okugenda mu maaso.</s> <s id="98">Si buli nkola za kwegatta nti zisobola okuleetawo okukwatagana kw'emibiri.</s>