# ar/3ldcVLVNFQ8p.xml.gz
# lg/3ldcVLVNFQ8p.xml.gz
(src)="1"> ( Arabic translation by Amal Alsamawi , MPH Student , University of Michigan ) مقدمة التدريب على ادارة الكوارث
(trg)="1"> ( Luganda translation by Eve Nabulya , Makerere University ) OKUTENDEKEBWA MU KWANGANGA EBIBAMBA EBIGWA TEBIRAZE :
(trg)="2"> ENYANJULA
(src)="2"> لبعض الخلفية لقد إجتمع الجامعات فى شرق افريقيا معا من اجل تنفيذ
(src)="3"> مبادرة إدارة الطوارئ الصحية وهذا برنامج لبناء قدرات
(src)="4"> الحكومات المحلية في المنطقة لإدارة وتخطيط للاستجابة للكوارث الكبرى من
(trg)="3"> Ga ssetendekero mu nsi z' Africa ey´ebuvanjuba gakwatidde wamu kaweefube mu nteekateeka oy' okwanganga ebibamba bye by' obulamu esuubirwa okutumbula obusobozi bwa gavumenti ez' ebitundu mu nsi zino mu kuteekateeka obudduukirize singa ebibamba ebiyuuya embeera z´eby´obulamu biba biguddewo .
(src)="6"> منطقة شرق أفريقيا هو عرضة للكثير من الكوارث الطبيعية والتكنولوجية المختلفة
(src)="7"> الأنواع .
(trg)="4"> Ekindu kya Africa ey' obuvanjuba kiri mu katyabaga k' ebibamba ebigwa tebiraze ebyekuusa ku butonde bw' ensi oba ebiva ku nkola ya tekinologiya eby' enjawulo .
(src)="8"> ليس هناك أمة واحدة في المنطقة التي ليست عرضة للآثار المدمرة
(src)="9"> من هذه الكوارث .
(trg)="5"> Mu Africa ey' ebuvanjuba temuli nsi nemu etayolekedde , oba etannalozaako ku buzibu bwa bibamba bino ebigwa tebiraze .
(src)="10"> كثير من هذه الكوارث مرتبطة بالصحة العامة مباشرة في حالة
(src)="11"> أوبئة الأمراض المعدية ، أو بشكل غير مباشر نتيجة لانهيار البنية التحتية
(src)="12"> المرتبطة بهذه الكوارث .
(trg)="6"> Ebisinga ku bibamba bino bikosa buteerevu embeera z 'e by´obulamu nga bivaako endwadde ezisasaana amangu oba nga bitataaganya enzirukanya y' emirimu mu bitongole ebikwatibwako .
(src)="13"> والغرض من هذه المبادرة هو بالتالي إلى زيادة قدرة المناطق على التخطيط
(src)="14"> والاستجابة والتأهب لمواجهة الكوارث ، وذلك للحد من المعاناة الإنسانية ،
(src)="15"> وتخفيف المراضة والوفيات التي غالبا ما تنشا من مثل هذه الحوادث
(trg)="7"> Ekinyusi kya kaweefube ono kwe kutumbula obusosbozi bwa zi disiturikiti okuteekawo enkola esobozesa obwangu mu kubudaabuda n' okuyamba ababa bakoseddwa , olwo kikendeeze ku bulumi , okunyigirizibwa mu birowoozo n' okufirwa obulamu ebitera okuva mu bibamba nga bino .
(src)="16"> ما هو الهدف من هذا التدريب ؟ الهدف من هذا التدريب هو تعزيز قدرة
(trg)="8"> Omulamwa gw' okutendekebwa kuno kye kyi ?
(src)="17"> التخطيط والإدارة للصحة العامة على مستوى المنطقة
(trg)="9"> Omulamwa gw' okutendekebwa kuno kwe kwongera amanyi mu busobozi bwa buli disiturikiti mu kuteekateeka obuyambi nokubuddukanya olw 'e bibamba ebikosa embeera z´eby´obulamu .
(src)="18"> الأهداف المحددة لهذا التدريب هي : خلق الوعي حول الطوارئ الصحية العمومية ،
(trg)="10"> Ebigendererwa mu kutendekebwa kuno bye bino :
(trg)="11"> Okusasaanya amawulire agakwata ku bibamba ebigwa tebiraze mu by' obulamu
(src)="19"> لتطوير خطط ادارة الكوارث في المنطقة و الاستجابة لحالات الطوارئ والكوارث المشتركة
(src)="20"> على مستوى المناطق ، وبناء القدرات لموظفي المنطقة لتدريب المستويات الأدنى في
(src)="21"> إدارة الاستجابة للكوارث
(trg)="12"> Okubangawo enkola ku buli disiturikiti ey' okwanganga ebibamba ebitonotono ebitera okugwaawo ku disiturikiti , era n' okutumbula obusobozi bw' abakungu ba zi disituriki mu kusomesa abantu be bakulembera mu kwanganga ebibamba ebigwa tebiraze
(src)="22"> ما هو انتاجنا الرئيسية ؟
(trg)="13"> Kyikyi kyetusuubira okuva mu musomo guno ?
(src)="23"> انتاج خطة مواجهة للكوارث على مستوى المقاطعة
(trg)="14"> Tusuubira okukola ebbago lya disiturirkiti erifuga era n' okulungamya enkola mu kwanganga ebibamba
(src)="24"> وكيف نصل إلى هناك ؟
(trg)="15"> Ekyo tugenda kukikola tutya ?
(src)="25"> يوم ١ : سنرى توافق في الاراء بشأن المصطلحات ومفاهيم الكوارث وكيف الكوارث
(trg)="16"> Olunaku olusooka :
(trg)="17"> Tugenda kukkiriziganya ku kyi kye tuyita ekibamba era n' engeri ebibamba gyebikosaamu zi disiturikiti
(src)="27"> يوم ٢ : سوف نناقش بعض المخاطر الاكثر شيوعاً في منطقتنا
(trg)="18"> Olunaku olw' okubiri : Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku bikyi ebitera okuvaako ebibamba ebigwa tebiraze mu Africa ey' ebuvanjuba era ne mu zi disiturikiti zaffe
(src)="28"> يوم ٣ : ننظر إلى بعض السياسات والمعايير لإدارة الكوارث
(trg)="19"> Day 3 :
(trg)="20"> Tugenda kulaba ku zimu ku nkola era n' emitindo mu buduukirize ebisobola okugobererwa mu kwanganga ebibamba
(src)="29"> يوم ٤ و ٥ : سوف نعمل في مجموعات لإنتاج خطة إدارة الكوارث في المنطقة
(trg)="21"> Olunaku olw' okuna n´olw´okutaano :
(trg)="22"> Tugenda kukolera mu bubinja obutonotono .
(trg)="23"> Buli kabinja kajja kukola ebbago lya disiturikiti eriyinza okulungamya okwanganga ebibamba ebigwa tebiraze .
(src)="30"> يوم ٦ : عرض خطة المنطقة
(trg)="24"> Olunaku olw' omukaaga :
(trg)="25"> Buli kabinja kajja kwanjula ebbago lyako .
(src)="31"> شكرا .
(trg)="26"> Mwebale nnyo .
# ar/7AO3TZh2WGOK.xml.gz
# lg/7AO3TZh2WGOK.xml.gz
(src)="2"> ( Arabic captions by Karim Hamdy , Victoria College , Alexandria , Egypt ) هذه هي المحاضرة الاولى في الوحدة الأولى من سلسلة " مقدمة الى إدراة الكوارث " .
(trg)="1"> ( Luganda translation by Eve Nabulya , Makerere University ) Lino lye ssomo erisooka mu kitundu kyaffe ekisooka mu misomo gino .
(src)="3"> هذه المحاضرة ستكون مقدمة عن الكوارث .
(trg)="2"> Essomo lino lituwa enyanjula ku bibamba . ebigwa tebiraze
(src)="4"> سوف نناقش فيها المفاهيم الأساسية و معانيها و القضايا الأساسية فيما يتعلق بالكوارث
(src)="5"> فضلا عن المصطلحات التي يشيع استخدامها في حالات الكوارث .
(trg)="3"> Tugenda kukubaganya ebirowoozo ku nyingo enkulu , amakulu n' ebyo ebikwata ku bibamba ebigwa tebiraze era n' ebigambo ebitera okukozesebwa nga twogera ku bibamba ebigwa tebiraze
(src)="6"> سوف نلقي نظرة أيضاً على تصنيف الكوارث , و العواقب فيما يخص الصحة العامة
(src)="7"> في الكوارث .
(trg)="4"> Era tugenda kwogera ku bika oba engeri eziri mu bibamba bino era n' engeri embeera z´eby´obulamu gye zikosebwamu . ebibamba bino ,
(src)="8"> ماذا يعني لك مصطلح ´كارثة ' ؟
(trg)="5"> Ekigambo " ekibamba " kikutegeeza kyi ?
(src)="9"> الكارثة يمكن أن توصف بـ" خلل خطير في وظائف مجتمع
(src)="10"> يتسبب في إنتشار خسارة بشرية , مادية , إقتصادية أو بيئية تتعدى
(src)="11"> قدرة المجتمع المتأثر على التغلب عليه بإستخدام موارده الخاصة " .
(trg)="6"> Ekibamba kiyinza okunnyonnyolwa nga ekintu ekigwaawo nekitataaganyiza ddala era n' okutabulatabula enkola n' embeera y´obulamu mu bantu ab' omukitundu ekimu . oba ebitundu ebiwereko , ekiretera abantu okufiirwa obulamu n' ebintu byabwe era n' ekitundu mwebabeera okutataagana , mungeri esukka obusobozi bw' abantu bano n' ebintu bye balina , okwejja mu buzibu .
(src)="12"> النقطة الأساسية التي يجب أن تلاحظ هنا هو أن هذا الخلل يفوق قدرة المجتمع المتأثر به
(src)="13"> على التصدي له , و عادةً ما يحتاجون إلى الكثير من المساعدة .
(trg)="7"> Ekikulu mu mbeera eno kwe kuba nti obuzibu buba busukkira ddala nnyo obusobozi bw' abantu ababa bakoseddwa era okuyita mu mbeera eno baba beetaga obuyambi obwamanyi .
(src)="14"> وهذا التعريف من منظمة الصحة العالمية .
(trg)="8"> Ago nno ge makulu g' ekigambo kibamba agaawebwa ekitongole ky' ensi yonna , ekikola ku by' obulamu , World Health Organization .
(src)="15"> سوف نتعرف على مصطلحات أخرى .
(trg)="9"> Kati tugenda okunnyonnyola ebigambo ebirala
(src)="16"> ما هي حالة طوارئ ؟
(trg)="10"> Akattu kye kyi ?
(src)="17"> هي حالة تُعلق فيها الإجرائات الإعتيادية و تُتخذ فيها تدابير إستثنائية
(src)="18"> بغاية تفادي وقوع كارثة .
(trg)="11"> Eno yembeera etwetaagisa okulekayo engeri eza bulijjo ze tukolamu ebintu era ne tubangawo enkola ezitali zabulijjo okusobola okwewala akabi akava mu kibamba .
(src)="19"> عادةً ما يستخدم المصطلحان طوارئ و كارثة بشكل متبادل .
(trg)="12"> Wabula emirundi mingi ebigambo bino : ´akatttu´ ne ´ekibamba´ bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu .
(src)="20"> ولكن ، حالات الطوارئ تشمل تعليق الإجراءات العادية ، أي أننا نعلق الطرق المعتادة
(src)="21"> للقيام بالأمور حتى نستطيع أن نستبدلها بإجرائات إستثنائية لتفادي إحتمالية حدوث
(src)="22"> كارثة .
(trg)="13"> Naye tulina okummanya kino nti : akattu ye mbeera etwetaagisa okukyuusa mu ngeri gye tubadde tukola mu ebintu nga tugunjawo engeri eyenjawulo egendererwamu okuziyiza ekibambulira .
(src)="23"> لنلقي نظرة على بعض المصطلحات أخرى .
(trg)="14"> Katulabe ku bigambo ebiri mu kkowe lino .
(src)="24"> خطر , مجازفة , ضعف , و قدرات .
(trg)="15"> Ekikuuno , akatyabaga , obusobe , n' obusobozi .
(src)="25"> ما هو الخطر ؟
(trg)="16"> Ekikuuno kye kyi ?
(src)="26"> الخطر هو حدث تهديدي أو حادث تدميري محتمل .
(trg)="17"> Ekikuuno kye kintu ekibi , eky' entiisa ekiyinza okuzaala obizibu obungi eri abantu
(src)="27"> لم يحدث بعد , و لكن من المحتمل أن يكون مصدر لكارثة .
(trg)="18"> Ekyo nno kiba tekinnaleeta buzibu naye nga kilina obosobozi okuvaamu ekibamba .
(src)="28"> إذاً ما هي المجازفة ؟
(trg)="19"> Akatyabaga kye kyi ?
(src)="29"> هي إحتمالية المعاناة من تلف ( سواءً كان للبشر , للممتلكات , للإقتصاد أو
(src)="30"> للبيئة ) بسبب خطر في منطقة معينة و توقيت محتمل .
(trg)="20"> Eyo ye mbeera eyinza okuvaako okufiirwa obulamu , ebintu oba okutaataaganyizibwa mu by' emirimu n´eby´enfuna n' obutonde bw´ensi , nga bireteddwa ekikuuno ekigwa mu kitundu ekimu mu kiseera ekimu .
(src)="31"> المجازفة كمصطلح يستخدم عادةً في الإحتمالات , و هو حاصل ضرب الخطر في الضعف .
(trg)="21"> Akatyabaga kye kigambo ekikozesebwa mu mbeera elimu emikisa emingi egy' okukosebwa okuva ku kikuuno .
(src)="32"> إذاً ما هو الضعف ؟
(trg)="22"> Olwo obusobe kye kyi ?
(src)="33"> الضعف يشير إلى القابلية للإصابة الجسدية أو العاطفية بعد
(trg)="23"> Wano obusobe kitegeeza embeera omuntu mwaberera omwangu ennyo okukosebwa mu birowoozo era ne mu mubiri gwe
(src)="34"> كارثة .
(trg)="24"> Oluvannyuma lw' ekibamba .
(src)="35"> هو الدرجة التي تتعرض لها منطقة , أفراد , كيانات جسدية أو ممتلكات إقتصادية
(src)="36"> للخسارة أو الإصابة أو الضرر الناجم عن تأثير خطر .
(trg)="25"> Bwe tukigaziya tuyinza okugamba nti bwe bungi bw' emikisa eri ekitundu , abantu , n' ebintu okukosebwa olw' embeera eva mu kikuuno .
(src)="37"> ما هي القدرات ؟
(trg)="26"> Obusobozi kye kyi ?
(src)="38"> يشير مصطلح القدرات إلى الموارد المتاحة ، بما في ذلك الإنسان ، والمواد ، والأنواع الأخرى من الموارد ،
(src)="39"> التي ستمكن مجتمع ما من التعامل مع تهديد مستقبلي أو مقاومة تأثير خطر .
(trg)="27"> Mumbeera eno kino kitegeeza okubaawo kw' abantu , ebikozesebwa era n' ebikola byonna ebiyinza okusobozesa abantu b' omukitundu ekimu okwanganga ekikuuno nga tekinnatuuka oba okwanganga ebizibu bye kiba kireseewo .
(src)="40"> ما هي العلاقة بين هذه المصطلحات ؟
(trg)="28"> Olwo nno kakwate kyi akali wakati w' ebigambo bino ?
(src)="41"> يمكن تمثيل مجازفات الكوارث رياضياً بالمعادلة : المجازفة تساوي حاصل ضرب الخطر
(trg)="29"> Ekibamba n' akatyabaga :
(trg)="30"> Akatyabaga mu mbeera y' ekibamba kasobola okunnyonnyolwa nga tweyambisa ekibalo kino wammanga .
(src)="42"> في الضعف ناقص القدرات .
(trg)="31"> Akatyabaga kenkanankana n' ekikuuno nga okikubaganyizzaamu obusobe ate n' oyawulako obusobozi .
(src)="43"> قد تكون الكوارث الطبيعية .
(src)="44"> قد تكون تكنولوجية ، أي من صنع الإنسان .
(trg)="32"> Ebibamba bisobola okujja olw' obutonde , naye ate bisobola okuva ku nkola eya tekinologiya oba ebyo ebikolebwa omuntu .
(src)="45"> ثم هناك تلك التي ليست هذا ولا ذاك ، تسمى كوارث ´الهجينة ' .
(trg)="33"> Waliwo ebibamba ebitagwa mu kimu ku bika ebyogeddwaako waggulu , nga ebyo tubiyita bya maleeto .
(src)="46"> طريقة أخرى لتصنيف الكوارث استناداً إلى سرعة الظهور/ البداية .
(trg)="34"> Engeri endala gyetuyinza okwawula mu bibamba esinziira ku misinde kwe bitambulira .
(src)="47"> يمكن أن تكون الكوارث سريعة الظهور أو بطيئة الظهور .
(trg)="35"> Ebibamba ebimu bitambula ku misinde gya yiriyiri ate nga ebirala byo bitambula kasoobo .
(src)="48"> يمكن أن تشمل الكوارث بطيئة الظهور الجفاف والتصحر والمجاعات ، وإزالة الغابات ،
(src)="49"> و الآفات والأمراض النباتية .
(trg)="36"> Mu ebyo ebitambula akasoobo tulinamu ekyeya , eddungu, enjala , okutema ebibira mpozzi n' obuwuka oba endwadde ezikwata ebimera .
(src)="50"> وقد تشمل الكوارث الطبيعية المفاجئة سريعة الظهور الكوارث المناخية مثل الفيضانات ، العواصف ،
(src)="51"> حرائق الغابات ، وعواصف البرد ، والكوارث الجيولوجية مثل الزلازل وأمواج المد والنشاط البركاني ،
(src)="52"> والانهيارات الأرضية .
(trg)="37"> Ebibamba ebya yiriyiri bitwariramu ebyo ebiva ku mbeera y' obudde gamba nga amataba , embuyaga ya zzimu , omuliro ogwa kyegyira , omuzira oguggwa era n' ebyo ebiva ku nkula y' ensi gamba nga sunami oba ensozi okuwandula omuliro n' okubumbulukuka kw´ettaka .
(src)="53"> الكوارث التكنولوجية غالباً ما تكون من صنع الإنسان .
(src)="54"> و تكون نتيجة للأنشطة التي تقوم بها البشر أو انبعاثات من البشر .
(trg)="38"> Ebibamba ebiva ku tekinologiya bitera kuletebwa bikolwa bya bantu bennyini oba omukka oguva mu bintu abantu bye bakozesa .
(src)="55"> وهي تشمل النزاعات والحروب التي تؤدي إلى اللاجئين والمشردين داخليا .
(trg)="39"> Muno mwetusanga obukuubagano n' entalo ebireeta abantu okubundabundira mu nsi yabwe oba ebweru w' egwanga .
(src)="56"> غالباً ما تسمى هذه الحالات " حالات طوارئ معقدة " .
(trg)="40"> Bino tutera kubiyita kika kya mbeera ya kattu .
(src)="57"> وتشتمل الكوارث التكنولوجية أيضا على كوارث مثل عيوب البناء , إنهيار المباني
(src)="58"> تعطل وسائل النقل ، والحوادث في المياه ، والطرق وأنواع أخرى من الحوادث
(src)="59"> مثل الانفجارات الكيميائية و إنفجارت المصانع ، و أخرى من هذا القبيل .
(trg)="41"> Ebibamba bya tekinologiya era bitwaliramu ebizimbe n' amayumba okugwa , ebibamba ebibaawo mu by' entambula , obubenje bw' oku mazzi n´obw´okulukalu era n' obubenje obulala bwonna . gamba nga omukka ogw' obutwa oguva mu ddagala oba mu makolero .
(src)="60"> الكوارث التكنولوجية تشمل أيضاً الحوادث العسكرية ، الكوارث الناجمة عن الحرائق ، الإرهاب ، و
(src)="61"> الحوادث الصناعية .
(trg)="42"> mu bibamba bya tekinologiya era mulimu obubenje bw´eby´okwerinda , omuliro, ebibamba ebiva ku butujju , n' obubenje by´omu makolero
(src)="62"> الكوارث الهجينة .
(trg)="43"> Ebibamba ebya maleeto .
(src)="63"> في بعض الحالات ، من الصعب تصنيف كارثة كطبيعية
(src)="64"> أو تكنولوجية .
(trg)="44"> Mu mbeera ezimu kiba kizibu okwawula mu bibamba bino naddala okugamba nti bivudde ku butonde oba bivudde ku tekinologiya .
(src)="65"> فعلى سبيل المثال ، أين تقع الأوبئة ؟
(trg)="45"> Eky' okulabirako , endwadde eza kawumpuli zigwa mu tuluba kyi ?
(src)="66"> سننظر الآن في العواقب الصحية العامة للكوارث .
(trg)="46"> Kakano katutunuulire engeri ebibamba gye bikosaamu eby' obulamu .
(src)="67"> هناك عواقب عديدة للكوارث ، تتضمن الموت والإصابات وفقدان المياه النظيفة ، فقدان
(src)="68"> المأوى ، وفقدان المتعلقات الشخصية المنزلية ، والتحركات السكانية الرئيسية ، خسارة للصرف الصحي ،
(src)="69"> فقدان النظافة الشخصية الروتينية ، واختلال في إدارة النفايات الصلبة ، و قلق العامة حيال السلامة
(trg)="47"> Ebibamba bivaako ebizibu bingi nga omwo mwe muli abantu okufa n' okulumizibwa , okubulwa amazzi amayonjo , okufiirwa okufiirwa webegeka oluba , okufiirwa ebintu byabwe , okubundabunda , okufiira enteekaterka ez´eby´obuyonjo , nga enteekateeka ez' okuyonja okwa buli lunaku , okutataaganya entambuza ya kazambi oba enkola ez' ebyokwerinda mu ngeri ez' enjawulo , nga bireeta okutya , olwo obuwuka obuleeta obulwadde ne bweyongera era negujabagira nga endwadde ez' olukonvuba nazo zinyinyintira , oluusi n' amasanyalaze nga gavuddeko , emmere nga ya kkekwa ate n' amazzi nago nga gaanjadde .
(src)="73"> وهذا عرضاً مصوراً لبعض من عواقب الجفاف والمجاعة .
(trg)="48"> Kino kye kifannanyi ky' embeera nga wabaddewo ekyeeya n' enjala .
(src)="74"> وهذا مثال على بعض من آثار الفيضانات .
(trg)="49"> Kino kye kifananyi ky' ebyo ebibaawo nga waliwo amataba agomujjirano .
(src)="75"> وهذا مثال على بعض من آثار الفيضانات ذات البداية بطيئة .
(trg)="50"> Kuno kunnyonnyola ku ebyo ebibaawo mu mbeera ey' amataba agajja empolampola .
(src)="76"> وهذا مثال على بعض من آثار الانهيارات الأرضية .
(trg)="51"> Kuno kunnyonnyola ku bikyi ebiva mu mbeera ey' ettaka okubumbulukuka .
(src)="77"> إطار عمل هيوغو لإدارة الكوارث هو إطار دولي يركز على
(src)="78"> التالي على جميع المستويات ( بما في ذلك المستويات التشغيلية ) : إنشاء نظم إنذارات مبكرة
(src)="79"> بناء القدرات والتركيز على بناء القدرات الذاتية , و التركيز على سلامة ومرونة
(trg)="52"> Enkola eya Hyogo Framework for Disaster Management y' enteekateeka ey´ensi yonna esimbye essira ku bino wammanga ku mitendera gyonna : okugunjawo enkola eyitibwaamu okuwa okulabula okusooka okutumbula obusobozi era n' okussa essira ku nkola yonna etumbula obusobozi , okussa essira ku kwerinda n' okutumbula amanyi okulwanyisa embeera nga ezo waggulu mu bantu b' owansi , okukendeeza ebyo ebibateeka mu katyabaga , n' okwongera amanyi mu bweteefuteefu mu kwanganga ebibamba ku buli mutendera .
(src)="82"> تعريفات ما قبل الكارثة تشمل التأهب ، مما يعني ضمناً اتخاذ إجراءات تؤدي إلى وجود أشخاص
(src)="83"> لديهم معرفة بما يجب فعله وكيفية الاستجابة بعد وقوع كارثة .
(trg)="53"> Ebimu ku bigambo ebikwata ku mbeera ekulembera ebibamba mulimu obweteefuteefu , ekitegeeza enteekateeka eyamba abantu okumanya kyikyi eky' okukola nga ekibamba kigudde .
(src)="84"> الوقاية و التي تعني الأنشطة المصممة لتوفير الحماية الدائمة من الكوارث
(src)="85"> و التي تشمل تدابير الحماية المادية والهندسية ، فضلا عن تشريعات لمراقبة
(src)="86"> استخدام الأراضي والتخطيط العمراني .
(trg)="54"> Okugema ekitegeeza ebikolwa ebireeta obukuumi obwenkomeredde ku bibamba ebitwaliramu okukozesa ebyuma wamu n' ebintu ebirala ebikwatibwako , era n' okussaawo amateeka agakugira enkozesa y' ettaka era n' enteekateeka y´ebibuga .
(src)="87"> ثم " تخفيف حدة الكارثة " و هي تدابير تؤخذ سلفاً لحدث كارثي بهدف تحجيم
(src)="88"> أو القضاء على تأثيره في المجتمع و البيئة .
(trg)="55"> Waliwo okwetangira ekitegeeza enteekateeka ezikolebwa nga ekintu tekinnabaaawo nga zigendererwamu okukendeeza oba okukugira akabi kekiyinza okutuuusa ku bantu ne ku butonde bw' ensi .
(src)="89"> وتشمل تعاريف ما بعد الكارثة مصطلح " استجابة " .
(trg)="56"> Ebyo ebikolebwa nga ekibamba kimaze okugwawo mulimu okudduukirira .
(src)="90"> و هي القرارات والإجراءات التي يتم اتخاذها أثناء وبعد الكارثة ، وهي تضم
(src)="91"> الإغاثة الفورية وإعادة التأهيل وإعادة الإعمار .
(trg)="57"> Kuno kwekusalawo era n' ebyo ebitekebwa mu nkola oluvannyuma lw' ekibamba okugwa , nga mulimu obuyambi obw' embagirawo , okuddaabiriza era n' okuzimba ebyo ebiba byonooneddwa .
(src)="92"> " المعافاة " هو مصطلح أخر من مصطلحات ما بعد الكارثة .
(trg)="58"> Okuzza obuggya kye kimu ku ebyo ebikolebwa oluvannyuma lw' ekibamba .
(src)="93"> وهو يشير إلى الأنشطة المعنية باستعادة نظم دعم الحياة الحيوية لتعود إلى
(src)="94"> سابق عهدها , والأنشطة طويلة الأجل التي تدعم عودة الحياة إلى مجراها الطبيعي في مرحلة ما بعد الكارثة .
(trg)="59"> Kino kitegeeza ebintu ebikolebwa okuzzaawo ebikola era n' enkola eziwanirila obulamu olwo emirimu gisobole okugenda mu maaso era n' okusobozesa enteekateeka zonna ez' okuzza embeera mu nteeko mu kiseera ekiddirira ekibamba .
(src)="95"> تعاريف أخرى : الإغاثة والإنقاذ .
(trg)="60"> Ebigambo ebirala :
(trg)="61"> Obuyambi era n' obuddukirize
(src)="96"> وهذا يحدث في الفترة الزمنية بعد انتهاء فترة الكارثة مباشرةً .
(trg)="62"> Bino bibeerawo mu kaseera nga ekibamba kyakagwaawo .
(src)="97"> حيث تُتخذ تدابير استثنائية لإنقاذ الأرواح وتوفير الرعاية للناجين ، فضلا عن تلبية
(src)="98"> احتياجاتهم الأساسية .
(trg)="63"> Enteekateeka ez' enjawulo zikolebwa okuwonya obulamu era n' okubudaabuda abo abawonyewo ssaako n' okusisinkana ebyetaago byabwe ebisookerwako .
(src)="99"> هناك فرق بين عمليات الإنقاذ والإغاثة .
(trg)="64"> Waliwo enjawulo wakati w' ebigambo : obuyambi n' obuddukirize
(src)="100"> الإنقاذ يهدف بشكل أساسي إلى تأمين الحياة , بينما الإغاثة تهدف إلى المحافظة على الحياة .
(trg)="65"> Obuddukirize bugendererwa kuwonya bulamu sso nga ate obuyambi bugendererwa kuwanirira bulamu .
(src)="101"> إعادة التأهيل ، من ناحية أخرى ، هي العملية التي تحدث بعد مرحلة الإغاثة .
(src)="102"> لا يوجد أحتياج لتبعية أو دعم للإحتياجات الأساسية
(src)="103"> و أنه قد تم بالفعل تلبية الإحتياجات الأساسية .
(trg)="66"> Okubudaabuda kwo kukolebwa nga obuyambi bulekeddawo okugabibwa , era nga obuyambi obw' ebyetaago ebisokerwako tebukyetaagisa , era nga abantu betengeredde mu kusisinkana obwetaavu obw' ebyo ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo .
(src)="104"> فهو ينطوي على استعادة الصحة العقلية والبدنية ، واستقرار المجتمع .
(trg)="67"> Okubudaabuda kulimu okuzza obuggya endowooza z' abantu era n' embeera zabwe ez' obulamu , wamu n' okutembenkeza embeera yonna mu kitundu .
(src)="105"> و ينطوي أيضاً على غرس مبادئ سبل المعيشة المستدامة وتمكين الضحايا/ الناجين .
(trg)="68"> Era kulimu okugunjawo enkola ennungamu ez' okuwanirira obulamu n' okuyamba ba kawonawo okugenda mumaaso .
(src)="106"> و ينبغي أن يؤدي إلى تطورات أفضل .
(trg)="69"> Enkola eno era esaana okuleeta enkulakulana mukitundu .
(src)="107"> أمثلة لإعادة التأهيل تشمل " خطط الإنعاش المبكر " للأشخاص المشردين داخليا ، برامج إعادة التشجير ،
(src)="108"> خطط ما بعد المعافاة .
(trg)="70"> Ekimu ku by' okulabirako by´okubudaabuda y' enkola ey´okuzzaawo ebibira , era n' enteekateeka ezikolebwa oluvannyuma lw' okuddabulula .
(src)="109"> وينصب التركيز على استعادة الوضع الأصلي قبل وقوع الكارثة .
(trg)="71"> Ekinyusi kiri mu kuzza embeera mu nteeko nga bweyali nga ekibamba kekinagwa .
(src)="110"> وتشمل أمثلة المعافاة إصلاحات للبنية التحتية للدولة ، تعزيز الدولة في مرحلة ما قبل وقوع الكارثة ،
(src)="111"> بناء القدرة على تكيف مجتمعات ، توفير الهياكل/ المساكن الجديدة التي سوف تكون قادرة على
(src)="112"> الصمود في وجه كارثة مماثلة في المستقبل .
(trg)="72"> Mu kuddabulula mulimu okuddabiriza ebizimbe , enguudo , n' ebiringa ebyo , okusitula omutindo gw' ebintu okuva ku bwebyali nga ekibamba kekinagwa okutumbula amanyi g' abantu b´omukitundu okwanganga ebibamba , gamba nga okutekawo ebizimbe ebyamanyi ebisobola okugumira ebibamba ebifananako nga ekyo mu biseera eby' omumaaso .
(src)="113"> وهناك نهج تطوري من الاستجابة والإغاثة للحد من مخاطر الكوارث .
(trg)="73"> Enkola eno yonna yandibadde erina engeri gy' esitula omutindo okuva ku kuwa obuwi obudduukirize n' obuyambi, wabula nga esemberera okukendeeza ku mikisa gy' ebibamba okugwa .
(src)="114"> تحدي لكم : ما هي الآليات التي وضعت في مكانها لمنع كوارث في منطقتك ؟
(trg)="74"> Kino kya kusomooza gyoli :
(trg)="75"> Nkola kyi zotaddewo okuziyiza ebibamba mu disiturikiti yo ?
(src)="115"> للحد من التعرض للكوارث في الحي الخاص بك ؟
(trg)="76"> Nkola kyi zotaddewo okuziyiza embeera y' obusobe ku bibamba mu disiturikiti yo ?